Paris

Paris kye ekibuga kya Bufalansa ekikulu. Ekibuga kyirimu abantu 2,220,445 era kyekisinga obune mu Bufalansa.

  • Awamu: 105 km²
  • Abantu: 2.220.445 (2014)
Paris - Eiffelturm und Marsfeld2

Tour Eiffel

Paris-von Montmartre-122-p8-2017-gje

Paris

Paris-Notre Dame-150-Suedtransept-2017-gje

Notre Dame

Paris-Sainte-Chapelle-106-2017-gje

Sainte-Chapelle

Paris-Arc de Triomphe du Carrousel-102-2017-gje

Arc de Triomphe du Carrousel

Paris-Eglise du Val-de-Grace-102-2017-gje

Val-de-Grace

Paris-Friedhof Montmarte-080-Bruecke-1991-gje

Cimetière Montmarte

Paris-Gare de l'Est-102-2017-gje

Gare de l'Est

Grandes Armes de Paris
Paris montage2
Paris

Website

Bufalansa

Bufalansa, oba Ripablik kya Bufalansa, kiri ensi mu Bulaaya. Ekibuga ky'ensi ekikulu kiyitibwa Paris.

Bulaaya

Awamu: 10,180,000 km²

Abantu: 742,000,000 (2015)

Ekibangirizi n'abantu: 75 km²

Ebigendererwa by’ensi eby’enkulakulana

Ebigendererwa by’ensi eby’ebyenkulakulana egenda mu maaso byatandikibwawo kibiina ky’amawanga amagatte.

Ebigendererwa by’ensi eby’enkulakulana egenda mu maaso bimanyiddwa mu butongole ng’ebigendererwa mukyusa nsi. Ebigendererwa bino biwerera ddala kkumi na musanvu nga bya kutuukirizibwa mu mwaka gwa 2030 mu nsi yonna. Ebigendererwa bino birina ensonga ezisongeddwako 169 mu byo. Ebigendererwa bino bisangibwa mu kiba ekya 54 mu kiwandiiko ky’amawanga amagatte ekyakolebwa nga 25/09/2015, nga byawomebwamu omutwe ekibiina ky’amawanga amagatte nga kiyita mu nkola ey’okununula ensi nga kiyambibwako amawanga 193 agakirimu wamu n’ekibiina ky’abakozi ba gavumenti mu nsi yonna.Ekiwandiiko ky’ekibiina ky’amawanga amagatte kirambulula endagaano eyakolebwa wakati w’enfugiro ez’enjawulo ku ki ekirina okukolebwa oluvannyuma lwa 2015 ebigendererwa by’ensi yonna eby’enkulakulana ebyasooka (Millennium Development Goals) okubagibwa nga biweddeko. Kino kyali kya kukolebwa nga bazimbira ku mateeka agakkaanyizibwako mu kiwandiiko kino (Resolution A/RES/66/288), ekimanyiddwa nga “Ebiseera Eby’omu maaso bye Twetaaga”.

Nga 19/07/2014, ekibinja ky’abantu abaali ab’okukola ku bigendererwa bino okuva mu Lukiiko Ttabamiruka olw’Ekibiina ky’Amawanga amagatte kyaweereza ekiwandiiko ekirimu ebiteeso byakyo eri Olukiiko luno. Ekiwandiiko ky’ebiteeso byabwe kyalimu ebigendererwa kkumi na musanvu (17) n’ebitunuuliddwa mu bigendererwa bino kikumi mu nkaaga mu mwenda (169) nga byali bitwaliramu kumpi buli kyetaagisa okusobola okutuuka ku nkulakulana eno egenda mu aaso / eteddirira. Mu bino mwalimu okukomya enjala, n’obwavu, okutumbula eby’obulamu n’ebyenjigiriza , okufuula ebibuga ebifo ebyesiimisa, okumalawo obuzibu bw’enkyukakyuka mu mbeera z’obudde, n’okukuuma zi ssemayanja wamu n’ebibira. Nga 05/12/2014, olukiiko ttabamiruka olw’ekibiina ky’amawanga amagatte lwakkiriza ekyo ekyasalibwawo ssaabawandiisi mu alipoota ye gye yakola oluvannyuma lw’okwekenneenya ebiteeso by’ekibinja ekikozi ekyasalawo ku bigendererwa bino era ne kikakasibwa nti enteekateeka yaakyo yejja okugobererwa.Enteeseganya wakati w’enfugiro ez’enjawulo ku nteekateeka y’ebyenkulakulana ey’oluvannyuma lwa 2015 zaatandika mu mwezi gwa Gatonnya wa 2015 ne zikoma mu mwezi gwa Muwakanya era mu mwaka gwe gumu. Oluvannyuma lw’enteeseganya zino, ekiwandiiko eky’enkomeredde kyabagibwa mu lukiiko olwatuula okukakasa ebigendererwa bino mu mwezi gw’omwenda okuva ng’ennaku z’omwezi 25-27 mu 2015, mu kibuga New York mu America. Erinnya ly’enteekateeka eno liri: Okukyusa ensi yaffe: Enteekateeka nnamutayiika ey’enkulakulana eteddirira eya 2030 (Transforming our world: the 2030 Agenda for Sustainable Development).

My Inner Beast

My Inner Beast(Omutima gwefubitizi) Kino kyekibumbe ekiweza obuzito bwa kilo 1000(ton)era kyakolwa munkokoto enzirugavu era Jens Galschiot.Omwaka 1993 mu november ebibumbe binno ebiwera 20 byasimbwa mu bibuuga ebiwereladala amakuumi abbiri 20 okwetorola bulaya nga taweredwa lusa okuva mubakulu.Musaawa 55 zokka omulimu guno gwali guwede era gwawomwamu omutwe banakyawa abawerela ddala kikuumi 100 era nga kino kyekyali ekirabo kya buli kibuuga ekyo mwebyasimbwa.

Mu nnimi ndala

This page is based on a Wikipedia article written by authors (here).
Text is available under the CC BY-SA 3.0 license; additional terms may apply.
Images, videos and audio are available under their respective licenses.